Willy Mukaabya – Kayanda Lyrics

Kayanda Lyrics – Willy Mukaabya

Bwakedde dda obwa Nakiyimba
Omuntu ndabye ennaku nze oba nkole ntya?
Ndi ku mutawaana sirina mirembe
Singa namanya nze nejjusa
Nti omwana ssi wange singa muwaayo
Omwana ekiro kale ssebo agugumuka
Agwa n’alambaalan’afaanana ekifudde
Yegaaya naawe n’akutiisa
Era bw’abitandika ssebo omuviira
Ka mpite baliraanwa nabo babeewo
Sirimba bampe ku magezi naye nkole ntya?
Naye nze ndi ku muteelu sirina mirembe
Oooh mu butuufu kinnuma
Baliraanwa (wangi)
Baliraanwa (wangi)
Mujje munnyambe nina obuzibu
(Kiki mutawaana ki?)
Ekintu kinnuma sirina mirembe (kiki?)
Nze ekintu kinnuma sirina ddembe
Njagala mumpitire baliraanwa (anha)
Njagala mubayite bonna babeewo
Naye nze nsula ku kabi sirina ddembe
Oooh mu butuufu bintamye
(Eh, kaŋŋende mbayite naye sibitegedde bino)

Mwabimanya baganda bange (ebyaki?)
Twatabuka ne Kayanda olwa Nakiyimba
(Ebyo twabimanya)
Ng’agamba omwana y’amuzaala
Nga nange ŋamba omwana nze muzaala
Kayanda ne mugoba mu maka muno
N’omukazi n’agenda gye saategeera
N’agenda gye saategeera
Mbeera kumanya Kayanda gye yabulira
Omwana naalimumuwadde taata nfune emirembe
Oooh mu butuufu bintamye (eh!)
Mpulira bubi nze kinzita kinnuma
(Muwe omwana we)

Bannange baganda bange
Bannange baliraanwa
Ebintu ebyo abimmazeeko okubyasa mu nju
Yanjasiza essaawa ennene eyokukisenge
Ne kinnuma ne kimpa n’obukambwe
Yamboggolera katono okugwa eri
Ng’eno nno bw’ayogera n’ennimi ezitiisa
Oooh mu butuufu bintamye
Bannange nga kinnuma

Baganda bange
Naye ka nkubuulire mwami Mukaabya oli mubi nnyo
Wabula mwami Mukaabya nkubuulire?
Katugende tusabire omwana ono
Muleetere ba pasita bamusabire
Wabula kubanga Yesu ye w’amaanyi
Ate Yesu wa mazima
Yesu awonya
Nze nina Pasita Robert
Ajja musabira kuba ye Yesu w’amaanyi
Yesu ayagala abaana be
Yesu wa mazima bannange
Ono yeetaaga musawo muganda
Ono yeetaaga kusamirira
Bannange Pasita w’amaanyi
Kale genda omuleete tulabe, mwerimba

READ ALSO:  Wuu - On God Lyrics featuring Yaw Tog

Bannange baganda bange
Bwentyo nsula ku kabi nze seebaka ndabye
Nsula ku kabi sirina ddembe
Nsula ku kabi sirina ddembe ooh

Katumuyimbire akayimba ndowooza
Ayi Yesu tuweereze amaanyi
Bye wakola mbikole n’amaanyi x 2
Ayi Mukama Katonda wange
Ndagira omwana ono
Amaanyi agawonya
Ayi Mukama Katonda wange
Sitaani genda
Emizimu egy’okufa
Dayimooni z’obulwadde
Dayimooni z’emisambwa
Sitaani genda
Laba laba laba
Amaanyi agawonya
Yesu amuyiira omusaayi
Laba laba laba
Laba laba laba
Laba laba laba
Hallelujah mu linnya lya Yesu
Laba laba laba (amen)
Laba laba laba (amen)
Hallelujah (Hallelujah)

Ndowooza ekiro nsula n’ebiteega
Bwenzigyako ettaala ndabako ebimyansa
Waliwo ekimmwa enviiri ne kizitwala
Tunula wano olabe ebimya
Tunula wano olabe amakweno
Mugiyita mpalaata ssebo by’ebimwawo
Egyo emisota gyetala okuzaama
Waliwo nze gye nsangako ne mu bikunta
Embuzi yange eri ekuba obulongo
Yakaze mbagirawo ssebo yafudde
Ezo enkoko gwe zibiika amasumba
Waliwo ekikuba oluggi ng’abajaasi
Ŋenda okuggulawo tewali kavaayo

Awo agambye atya?
Anti ebyo obwedda byayogera
Agambye, ntinno
Bwotaamuwe mwana we
Olwaleero luno era munnange omusajja
Olina omuwa omwana we n’agenda
Kuba ekyalo kyonna kijja kufa kiggwewo
Embuzi, n’enkoko

Bannange baganda bange
Kye nvudde mbayita
Mumpe ku magezi aganamponya
Ssinze nasigala mu guyu obw’omu
Hmm ndi mu guyumba obw’omu
N’obuwuulu bunneesibyeko nze ng’obusaaga
Kaakati ŋenda kufuuka ng’omutujju
Njigge abakazi nze nga mbaganza
Ppaka nze lwe ndifunamu owange ow’eka
Gw’ate ndifuna ddi obwa ssaalongo?
Nagoba Nambooze gwe lwa bugumba
Ne mpasa omulala Kayanda n’amuzaalamu
Naye okukyetegereza nti nze mugumba
Nina okuza…
Bannange nti nze mugumba
Nina okunoonyeza ddala omukazi ayonsa
Oba wa lubuto kuba mmanya
Nti ono bw’avaako, addako y’ennamba yange, eh
Kye njagala baliraanwa (eh)
Njagala munsigalize ku Nakiyimba (ani!!!?)
Bambi mmale okutabaala
(Aah ah ani asigaza ekyana ekyo?)
Bambi mmale okutabaala
(Aah ah nedda ssebo)
Nfune omukazi gweneewasiza
(Tewali ebyo)
Naawe muliraanwa onvuddemu ddala naawe ogenze?
Aaah nze naggamba dda
Nti omusajja muwe ebibye agende wagaana
Kakikumwe enviiri ekiddako kirindirire
Kati oyagala nkole ntya?
Naggamba Kayanda mmanyi gy’abeera
Kati lwaki gwe tomuyita n’ajja
Ne tuwona ebizibu ebitutawaanya bwebiti
Mpa transport nze ŋendeyo munone

READ ALSO:  Jenkins Mukasa - International Love Lyrics

Kaakati mumpitidde ki?
Ompitidde kunfunga oba mumpitidde mulimu?
Kayanda sisobola kuleetera bizibu naawe
Ate ono omusajja yangoba
Onjagaza ki kati?
Ah ssebo mukama wange tubadde tulina ensonga
Gye twagala okutegeezaako
Nsonga ki?
Tetuyinza kuyitira bwereere
Wali oyagala kunzitira wuwo, ne nkuviira
Ekikumpisizza Kayanda leero
Kya mwana ono Nakiyimba
Okusinziira ku bye ndaba ate
Nsazeewo okumukuwa
Kati nze nsazeewo okumukuwa
Mpozzi kye njagala ke kasiimo kange
Akaaki?
Omwana nga talundika muganda wange
Wankolera ki?
Nange waalimpadde akasiimo kange
Twala gwe eri
Tubeere bulungi
Ky’ekyo Kayanda ate kye ŋamba ssebo
Siyinza kubikkiriza n’akatono

Ndowooza Mukaabya nakutegeeza
Wakuba target n’olemwa okuteeba
N’okuba miss Kayanda ni nkusinga
Ate era Mukaabya nakutegeeza
Omusaayi ogwaffe ogwi Burundi
Tigusobola kale okuzaawa
Aah n’ababaka bangye baakutuuka
Bimbadde nsindika okukutegyeza
Singa tiwalina musaayi gwangye
Mbadde njagala n’amaka go yonna
Nga buli w’oyita owunya ekivundu
Naye kale nga bw’omaze okugonda
Nange nzikirizza nkusonyiye
Wiibare kumpa omwana wangye
Kati nno nsasula obusente bwangye
Bwe nakukolera emyaka mwenda
Ebyo bw’obimala sirina nsonga
Nsasula

Naye musajja gwe ng’omanyiira!
Musajja gwe ng’omanyiira yii!
Wepankapanka
Gw’eyandyetonze gwe olw’obujoozi
Ate nze n’osalawo gwe onjoogejooge?
Kati essaawa ya kuwunya musaayi
Eno essaawa ntandise okutaama
Kankutujje eŋŋuumi nze kummanyiira
Bannange onkubira ki?
Kankutujje ebikonde leero luno
Mwampise kunkuba?

:Kayanda Lyrics – Willy Mukaabya

You may also like...